Refine
Clear All
Your Track:
Live:
Search in:
EBYAFAAYO BY'EKANISA YA KRISTO MUNSI YONNA
EBYAFAAYO BY'EKANISA YA KRISTO MUNSI YONNA

EBYAFAAYO BY'EKANISA YA KRISTO MUNSI YONNA

Okumanya ebyafaayo kitegeeza okwetegereza ebintu ebize bibeerawo okuvira ddala ekanisa lweyatandika n'obulamu bwa yesu, abatume be era n'okwekenenya n'obwegendereza engere obukristaayo gyebwasasaanamu ne bubuna ensi yonna....... okumanya ebyafaayo bye kanisa era yengere yoka etusobozesa okumanya ebintu ebyenjawulo ebiri mu kanisa engere gyebajamu okubeera ekituntu ku kanisa, ebyavirako obukristaayo okuba nga bulimu obubinja bwenzikiriza endala nnyinji nnyo. </p>Duncan kabuga kyava yewaayo okuyambako abagala okumanya nga agabana okumanya kwe n'abalala ku mukutu guno</p>

Available Episodes 10

obulamu n'eneyisa y'abakristaayo yabaletera okuba nga bakyayibwa era nga b'ekengerwa nnyo mu roma yano

Okuffa kwa stephern kwakola kinene nnyo okuletayo okutegera nti engiri teyali yabayudaya bokka wabula yali yabantu bonna okwetoloora ensi.

Bantu banji nnyo balina ekirowozo nti obukristaayo diini ya bazungu, naye okusinzira ku byafaayo kilabika bulungi nti obukristaayo mu bazungu bwatuukayo butuusi nga buletebwa abantu abataali bankizo nnyo mu bulamu nga ne mu africa bwe bwaletebwa obuletebwa........

Newankubade Constantine teyawaliriza basamize kufuuka bakristaayo, eyamudira ebanga bweryayitawo theodocius nafuuka omukulembeze wa roma, ate ye yawaliriza abantu bonna okusinza nga abakristaayo

Yesu yafaayo nnyo okulaba nga abantu tebatabula kuyigiriza kwe na ngeri aba falisaayo gyebayigirizangamu..........

Omulabirizi wa roma (Paapa) bweyasobola okulemesa akabinja ka ba lambadi okulumba Roma okugyonona, wanno Gregory n'abala abamudiranaga mu bigere webasinziira okweraba nga beebalina obuyinza obwenkizo era abasaanide okuba nga balabibwa nga abakulu be kanisa munsi yonna

Amatwale ga Roma okufuna omukulembeze ow'okuntiko omukristaayo, lwafuuka lujji lunene nnyo olwasobozesa obukristaayo okwongera okubuna mu matwale ga roma ganno era nabantu bangi kati baali bakitwala nga kyamuwendo nnyo okutunuulira nga omukristaayo

Banamawanga abasooka okusembeza oba okukiriza ensinza y'abayudaya bayanguyirwa nnyo okukiriza enjigirza ya kristo eyali ebuulirwa abayuday abali bamaze okukiririza mu kristo (abatume)

Mubiseera wakati wa 590 - 1517 AD ebintu ebitali birungi byayitirira okubeera mu kanisa wamu ne mu byobufuzi byo mu matwale ga roma.

Kikulu nyo okutegeera obubinja obwenjawulo obwali mu bitundu bya palastine nadala obwa obwali buva mu bayudaaya nengere gyebwali bwawukana mu ne omugendo gwa yesu ogwatandikira mu bayudaya